Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja asabye Omubaka wa Nyendo- Mukungwe era nga ye ssenkulu w’ekibiina ki Democratic Front akole omukago nabo basobole okutuusa obuweereza obusaanidde ku bannayuganda . Nabbanja asinzidde Masaka ku kisomesa kya St Joseph Sub Parish e Masaka gyeyetabidde mu kitambiro kya missa ekigendereddwamu okusonda ensimbi ez’okuzimba ekisomesa kino.