Abakungu okuva mu maaka g’omukulembeze we gwanga balabude abavuba ba Ghetto abekazako amagali okukomya okwenyigira mu bumenyi bwamateeka mu kiseera kino ekyebyokulonda. Bano nga bakulembedwamu maj Emma Kuteesa abalabude abavubuka bano nti singa tebakomya kwenyingira mu bumenyi bwamateeka bakukwatibwa nebagalirwa. Bano bino babyogerede mu Katanga e bwaise gyebabade basisikanide ebibinja bya abavubuka ba Ghetto ku nsonga zokubakulakulanya.