Mu district y’e Rubirizi, kuzuliddwa nga abaana bangi bwebawanduse mu masomero olw’ofukuna embuto ku myaka emito dala atenga emisango gy’abo abazibafunisa mitono egyiwaabwa olw’ensonga nti bangi banganda. Obwavu, abazadde obutalaba nyo mugaso gwakusindika baana ku masomero saako n’ebitege mu kukwasisa amateeka zezimu ku nsonga ezivudeko ekizibu kino okweyongera.