Abalimi b’ebikajjo mu district y’e Kaliro basabye wabeewo gavumenti efube okulaba ng’ebbeeyi y’ebikajjo bye balima erinnya nabo basobole okuganyulwa mu mulimu gwabwe. Okusaba kuno bakukoze bali kumukolo ogwokuggulawo ekkamuliro oba Fakitole ya ssukaali eya Kaliro kukyaalo kye Bwayuya muggombolola ye Kasokwe mu disitulikiti ye Kaliro. Bano era baagala babakendereze n’ekumusolo ogujjibwa kubuli Tani y’ebikajjo wakiri ebitundu 50% nga omukulemebeze weggwanga bweyalagira.