Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Fatuma Nanziri agobye okusaba okw’okweyimirirwa okw’abakuumi b’omukulembeze we Kibiina ki NUP abana. Ensala eno esomeddwa akulira abalamuzi ba kkooti esookerwako e Masaka oluvannyuma lw’omulamuzi Fatuma Nanziri eyawulira okusaba kw’okweyimirira obutabaawo mu buntu.