Ekibiina ki PFF kyongedde amaanyi mu kwetegekera akalulu kaabonna aka 2026 nga kati bali mu kuperereza banna Uganda okubeegattako ku mulamwa gwebaliko ogw’okuleeta enkyuukakyuuka mu bukulembeze bw’eggwanga. Bano olwaleero bagguddewo wofiisi y’ekibiina mu bitundu bye Kigezi okwongera okukunga abaayo. Omukolo guno gubadde mu town y’e Kabale era gwetabiddwako bannakibiina abawerako ku mitendera egy’enjawulo.