Omu ku bakaawonawo mu kabenje ka bbaasi ya YY eyagwa n’ekwata omuliro ku luguudo lwa Katosi mu mwezi ogw’okutaano omwaka guno, ali mu kulaajana olw’obuvune bweyafuna. Ashiraf Twesigye ayagala aba kkampuni ya YY bamujjanjabe okutuusa lw’anaawona ng’ate nabo bagamba baamusasula obukadde buna (4) n’assa n’omukono ku ndagaano ekakasa nti bakkaanya ensonga bazimalire awo. Poliisi ekakasizza nti ono yasasulwa n’aggyayo n’omusango gwe yali aloopye. Bannamateeka bagamba nti okugonjoola ensonga eno kyetaagisa okutunuulira embeera endagaano eno gye yakolebwamu.