‘Gwe weeyimirira aluwa?’ kkooti ekalize maama w’omuvunaanwa

Gladys Namyalo
1 Min Read

Kkooti ya Mwanga 11 eggalidde omukyala Prossy Namugga lwakulemererwa kuleeta mutabani w’e gweyeyimirira mu kooti ku misango gyokusalimbira ku kkanisa ya Pastor Robert Kayanja eya Rubaga Miracle Centre Cathedral.Asindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuuka sabiiti ejja.
Omukyaala Ono Prossy Namugga,yeyimirira mutabani w’e Moses Tumwine eyakwatibwa mu mwaka gwa 2023 naggalirwa oluvanyuma naggulwako omusango gw’okusalimbira ku kkanisa ya Rubaga Miracle centre cathedral eya pastor Robert Kayanja.Ekiggalizza Namugga kulemererwa kukomyawo mutabani w’e ono mu kkooti.Tumwiine yoomu ku bavubuka omwenda abavunanibwa ogwokusalimbira ku kkanisa ya pastor Kayanja omusango ogugambibwa okuba nga baaguzza mu mwaka gwa 2023 era nga nnyina yamweyimirira ku kakalu kabukadde 20 ezitaali zabuliwo.Ono asindikiddwa mu kkomera e Luziri okutuuka wiiki ejja wakati mu magia.Mu kiseera kino Tumwiine tamanyidwako mayitire,era nga kkooti emutaddeko ekibaluwa ki bakuntumye nabalala bonna abaamweeyimirira. Namugga bwabadde asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti esokerwako, Adam Byarugaba,alemereddwa okunyonyola ensonga eremesa mutabani w’e okulabikako eri kkooti eno era obwedda akaaba bukaabi.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *