Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’abadiventi omuggya, kitaffe Samuel Kajoba, alabudde ba kabona ba katonda mu kkanisa eno okwewala okubuulira enjiri erimu yadde ekigambo ky’ebyobufuzi.Okusinziira ku Kajoba, ebikolwa nga bino biyinza okwawulayawula mu ndiga n’abantu abamu okusalawo eby’okujja ku Kkanira okubyesonyiwa.Ono abadde ayogerako ne bannamawulire omulundi ogusookedde ddala bukya alondebwa ku bukulu buno.