Akakiiko k’e byokulonda kakizudde nga bwewaliwo abeegwanyiza obukulembeze bwe ggwanga abatandise omuzze gw’okugaba ensimbi eri abalonzi, songa abalala eby’okugondera amateeka gebakanyaako babiviirako ddala.Akulira akakiiko kano Simon Byabakama agambye nti mu mwezi ogumu bano gwe baakamala nga banoonya akalulu bingi bye babazuddemu, kale nga sabiiti ejja bakutuuza olukiiko n’ababakiikirira babeeko bye bakanyaako.Bino Byabakama abyogeredde mu nsisinkano eyategeekeddwa bannakyewa okukubaganya ebirowoozo ku butya okulonda kwa 2026 bwekuyinza okutegekebwa mu mirembe.
KAMPEYINI Z’OBWA PULEZIDENTI:Akakiiko kakubye tooci ku mwezi ogusooka
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
