Kkooti enkulu ewozesa egy’obulibwenguzi mu Kampala ekkirizza abakulu 12 ab’ekitongole ky’eby’omunsiko okweyimirirwa. Bano bavunaanibwa emisango okuli obuli bwenguzi n’okufiiriza gavumenti obuwumbi mwenda n’obukadde bisatu. Ekkumi n’ababiri bano okuli n’akulira eby’obulambuzi n’enkulaakulana mu kitongole kino, Stephen Sanyi Masaba, ko akulira eby’ensimbi Jimmy Mugisa, bagambibwa okuba nga bakwata mu kyuma ekigaba pamiti z’okulambula amakuumiro g’ebisolo ne bagaba pamiti z’okulondoola amazike n’ebisodde wakati w’omwaka 2020 ne 2023. Abakulembedde oludda oluwaabi okuli Barbra Kauma ne Edward Muhumuza babadde basabye omulamuzi aleme kuyimbula bantu bano nga bagamba nti emisango gyabwe gy’amaanyi olw’omutete gw’ensimbi gwe baafiiriza gavumenti, so ng’era basobola okutataaganya okunoonyereza.
Kkooti ewozesa egy’obulibwenguzi ekkirizza bakozi ba UWA 12 okweyimirirwa
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
