Nga bweyateeseteese nti oluva mu kusunsulwa okuddamu okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni agenze butereevu ku kisaawe ky’amefuga e kololo gy’asisinkanidde abawagizi be.Kyokka wabaddewo akacankalano ku gumu ku miryango egifuluma e Kololo abamu ku bawagizi bwebaagadde okufuluma ekisaawe ab’ebyokwerinda nebabalemesa wabula oluvannyuma wakati mu kusindikagana abantu begulidde era abamu nebeelinnyalinnya kyokka abasirikale abakuuma omukulembeze w’eggwanga embeera eno bajikakkanyizza n’edda mu nteeko