Museveni aggyeyo empapula ezeegwanyiza ekisanja eky’omusanvu

Gladys Namyalo
1 Min Read

Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NRM, Richard Twodong agamba obungi bw’abo abeegwanyiza entebbe y’omukulembeze w’eggwanga buvudde ku kyakuba nti obukulembeze bwa NRM butaddewo embeera esobozesa buli muntu okwetaayayiza mu ddembe lye.Okwogera bino, Todwong abadde awerekeddeko omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu ggwanga, Al-hajj. Moses Kigongo okujjaya empapula za Pulezidenti Museveni nga yeegwanyiza ekisanja eky’omusanvu mu ntebe eno.Aba FDC kwossa Common Man’s Party eya Munyagwa, nabo baggyeyo empapula z’abanaakwatira ebibiina byabwe bendera.Webuwungeredde olwaleero nga abasukka mu 100 bebakajjayo empapula okweyagaliza obwa pulezidenti.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *