Akwatidde FDC bendera ku kya pulezidenti Nathan Nandala Mafaabi leero alumaze atalaaga kizinga kye Buvuma okukunga abatuuze beeno,okumujjukira nga okulonda kwa 2026 kutuuse. Abatuuze balombojjedde Nandala okusomooza kwebayitamu gamba nga obutaba na masanyalaze, Enguudo embi,amagye agaagoba abavubi ku nyanja kko n’ebirara. Bano Nandala abasubiza nti singa akajjala mu ntebe enkulu ey’eggwanga,wakunogera ebizibu byonna ebibatawaanya eddagala.Baker Ssenyonga Mulinde yatambudde naye.
Nandala Mafabi e Buvuma bamukaabidde ebbula ly’amasannyalaze n’enguudo embi
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found