Ku sande ewedde twakulaga Nazzikuno owekifo awali omuti gwa Nakayima mussaza lye Buwekula mu disitulikiti ye Mubende era netukusuubiza okuleetera ebifo ebirala ebyenkizo abakkiriza munnono gyebagenda nebakola emikolo egyokusaba emyooyo gino okubayamba nga nabyo bya Nakayima .Muno mwalimu okulaga eriiso lye, enyanja,ekigere kya Nakayima kwosa nebirala era Ronald Ssenvuma Katuzeeyo mulugendo olwokubiri olulimu okwetoloola ensozi za Nakayima 99.