Waliwo omuvubuka omutuuze w’e Lwengo, kkooti e Masaka gw’esindise ku alinda oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okuyisa olugaayu mu mukulembeze w’eggwanga n’amuddangako n’amuvuma. Kigambibwa nti Richard Muhanji ono ow’emyaka 22 abaddenga asinziira ku mukutu gwa TIkTok n’asaako obutambi ng’ayogera ebigambo ebikikinike eri abakulu abafuga kuno. Muhanji emisango gino yagyegaanye wabula nnyina amulumiriza nti abaddenga amulaba naagage.
Aabadde avuma Museveni ku mutimbagano asuze ku alimanda
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
