Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu asuubizza nga bwalina okutuuka ku bannayuganda ekitono ennyo obukadde makumi abiri mu lutabaalo lwalimu olw’okuwenja akalulu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Ono okwogera bino abadde mu disitulikiti okuli Butebo ne Budaka gyakedde okuwenja akalulu mu sabiiti eno eyokusatu bukyanga atandika kiwendo kino. Abeeno abasuubiza nga bwajja okufuba okulwanyisa enguzi gyagamba nti ezing’amuzza nnyo eby’enfuna bye ggwanga.
Ab’e Butebo ne Budaka Kyagulanyi abasabye bamulonde alwanyise enguzi
0 Min Read
Leave a review

Trending News
Recent Updates
No posts found