Pulezidenti Yoweri Kaguita Museveni yebaziza Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Nadiope Gabula olwokubeera omusaale mukukuma obumu, emirembe nokuleeta enkulakualana mu Busoga. Mububaka bwatiise Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku matikira ga Kyabazinga agekumina ogumu , Museveni yeeyamye okusigala nga awagira emirimu gy’obwakyabazinga.