Akwatidde NUP bbendera ku bwa Pulezidenti, Robert Kyagulanyi, abuulidde abantu be Bugiri ne Namayingo, nti agenda kukendeeza omuwendo gwa ababaka ba palamenti, ogwa ba minisita sako n’omusaaa gwaabwe okusobola okutaasa ensimbi z’omuwi w’omusolo. Ono tagenda kukoma awo wabula n’okukendeeza obuyinza bw’omukulembeze weggwanga.
Okwawukanako n’olweggulo, olwaleero tataaganyiziddwa.