E Kaliro poliisi elemesezza Mubarak Munyagwa okukuba kkampeyini we yategese

Gladys Namyalo
1 Min Read

Akwatidde Common Mans Party Bendera ku bwa Pulezidenti Mubarak Munyagwa, leero abadde Kaliro gyayongeredde okunnyikiza enjiri ye eyokugoba abagwira abatalina biwandiiko byetaagisa ate nga bakola emirimu egyalejjalejja egirina okukolebwa bannansi. Ono asinzidde eno nakolokota gavumenti ya NRM olw’omululu mu bakulembeze abaagala okwekkusa bokka wabula nasuubiza nti gavumenti ye yaakulaba nga buli omu agabana ku keeke yeggwanga mu nkola yakuliira ku lusaniya. Kyokka ono alidde matereke ne Poliisi emugaanye okukuba olukungaana ku Mayors Garden ngate temuwadde nsonga nnambulukufu.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *