Museveni amatizza abalonzi b’e Ngora lwaki gwe basaanidde okulonda

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Akwatidde ekibziina ki NRM bendera ku bwa Pulezidenti Yoweri Museveni akyatalaaga ebitundu bya Teso ng’aperereza abaayo okumwongera ekisanja ekirala mu kalulu akabindabinda. Museveni olwaleero asiibye mu disitulikiti okuli Kumi kwosa Ngora. Asabye abeeno okwesigama kwebyo byasobode okubakolera mu bisanja ebiyise omwali n’okukomya olutalo lw’ekiyekera olwakulemberwamu Alice Lakwena. Abasubiza ng’ekisanja ekiggya bwekigenda okuteekebwa kukutumbula eby’enkulakula nadala nadala nga bakola enguudo mu kitundu kino. Ategezeza ng’ensimbi ez’okukola omulimu guno bwezaafunise nga kati ekirindiriddwa kwekufuna kontulakitaa okukola omulimu guno.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *