OKUJJANJJABA ABAYI ENNYO: Eddwaliro lye Kiwoko lifunye ekisenge eky’enjawulo

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Okumala emyaka egiwera, abalwadde abayi ennyo naddala abafunye ebisago ku mitwe, abakyala abafunye obuzibu obwamaanyi nga bazaala n’abalala abali nga abo mu disitulikiti okuli Luwero, Nakaseke, Nakasongola, n’emiriraano babadde baddusibwanga mu malwaliro g’e Kampala okufuna obujjanjabi obw’amangu. Wabula ekyo kyandikyuuka oluvanyuma lw’eddwaaliro lya Kiwoko okuggulawo ekisenge omujanjabirwa abalwadde abayi akityitibwa High Dependence Unit okusobola okutaasa abalwadde abali wakati w’obulamu nokufa. Omulabirizi wa Luwero Kitaffe mu Katonda Rt. Rev. Wilson Kisekka agabye governmet okwongeza ku bugabirizi bwayo mu malwaliro g’obwananyini agatandikibwawo mu musingi gw’ensikirizza kuanga gakola kyamaanyi iokuyamba ku government mu by’obulamu.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *