Waliwo abaagala Moses Ali aggyibwe ku kakonge

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Waliwo abalwanirizi b’e ddembe ly’obuntu babiri abadukidde mu kooti nga baagala esazeemu okusunsulwa kwa Gen moses Ali akwatidde NRM bendera ku kifo ky’omubaka w’e Adjumani West. Bano okuli Kakwenza Rukirabashaija ne Ssuuna James Kiggala bagamba nti musajja wattu ono mukadde nnyo, mulwadde yenna takyesobola, kale nga okumisindika mu palamenti akiikirire abantu be Adjuman kiba kivoola eddembe lyabantu bano okukiikirirwa obulungi. Mu musango guno bawawaabidde akakiiko kebyokulonda, akulira akakiiko ka NRM akebyokulonda Dr Tanga Odoi kko ne ssabawolereza wa gavumenti.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *