Waliwo abasiraamu abalumbye abakulisitu e Yumbe nga bawakanya eky’okutunda embizzi

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Wabaddewo okulwanagana okw’amaanyi mu kabuga ke Yumbe, akabinja kabavubuka abayisirmu bwe balumbye ebizimbe bya gavumenti ne business eza bannaabwe abagoberera Kristu nebakkira okuzonona nga bawakanya eky’okutunda embizzi mu kitundu kyabwe. Kigambibwa nti bino byonna byavudde ku seeka omu ayitibwa Kasim Abdallah nga imam ku muzigiti ogumu mu kitundu kino okulabikira mu katambi nga awakanya abatunda embizzi mu kitundu kye Yumbe kyokka nga kya bayisiraamu. Abantu abawerako balumiziddwa mu mbeera eno ekiwalirizza poiliisi okukwata abantu 5 okuli ne seeka yennyini eyavuddeko embera eno.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *