Akulira emirimu mu liigi y’eggwanga ey’ababinywera oba Uganda Premier League, Bernad Bainamaani, avuddeyo n’ategeeza nga bwebatagenda kutiisibwatiibwa na kkiraabu yonna ku nsonga y’okukyusa enzannya ya liigi eno. Ono ategeezezza nti beeteefuteefu okugenda mu maaso ne nzannya empya kavuna banaaba nga baweza kkiraabu ttaano mũ liigi. Kino kidiridde kkiraabu okuli Vipers, SC Villa, KCCA ne NEC okuvaayo mu lujudde nebategeeza nga bwebatagenda kwetaba mũ liigi eno okuggyako nga FUFA n’abakulira UPL bakkirizza okuddayo mu nzannya ebaddewo bulijjo.