Okutyaba enku mulimu gwa nnono mu Buwanga wano, era nga ba jjajaffe okwesogga ebibira eyo okuzisennya kyagobereranga emizizo egitali gimu. Mu bibira eyo era abakulu battirangayo ebyama ne bakulu bannaabwe oba abaana be baayagalanga okusigamu obwesige bwabwe. Mu kanyomero kaffe aka NAZZIKUNO olwaleero, RONALD SENVUMA agenda kutunyumiza engeri omulimu guno nagwo gye gwayambagamu mu kukuza abaana.