Okusunsula abeegwanyiza obwa mmeeya bw’ebibuga eby’enjawulo kutandikse ku kitebe kya NUP olwaleero era nga bannakibiina bakujjumbidde. Olwaleero abatwala akakiiko akalungamya eby’okulonda mu kibiina kino kategeezezza nti kongezzaayo enteekateeka z’okusunsula abeegwanyizi ebifo mu palamenti nga basinziira ku nkyukakyuka ezaakoleddwa akakiiko k’ebyokulonda ak’eggwanga.