Banna NRM mu district ye Ssembabule bakedde kweyiwa mu bungi okwetaba mu kuddamu okulonda obukulembeze bw’ekibiina kyabwe obwa district.Onajjukira nti okulonda okwaliwo nga 23 May kwayiika oluvannyuma lwa Minisita Omubeezi Owebyobulamu ebisookerwako Anifa Kawooya okwekandagga n’abawagizi be ne bazira okulonda.Kyokka era Theodore Sekikubo ne munne Anifa Kawooya tekibalobedde kubaako ngeri gye bakyankalanya bigenda mu maaso.