Abakulu abatuula ku kakiiko akatekebwawo okuwulira ensonga z’abaajulira mu kamyufu k’ekikibiina ki NRM,batubuulidde nti obutasukka lwamukaaga lwa sabiiti eno buli eyatwalayo okwemulugunya kwe ajja kuba ategedde eky’enkomeredde ekyasalibwawo.Batugambye nti ku misango 381 gyebaafuna, baakakola ku misango 180,kyoka nga negisigadeyo kyenkana giwedde.Mungeri y’emu banyonyodde lwaki waliwo egiruddewo okusalibwa.