Mu District y’e Luweero abaayo beekokkola enkola y’akakiiko k’eby’okulonda ey’okwekeneenya emikono gye bakunganyizza egy’abantu abalina okubasemba ku bifo eby’enjawulo byebagala okwesimbako gye bagamba nti egiwandula buteddiza. Olunaku lw’eggulo, Ssentebe wa District eno Erasto Kibirango lweyabadde alina okusunsulwa wabula tekyasobose kubanga emikono egimu ekyuuma kyagiwandudde naddayo nanoonya emirala kwekusunsulwa olwaleero. Herbert Kamoga y’ali e Luwero era katuwe ebikira ku bino.