Okuyuza ebipande bya Bobi Wine: Poliisi yaakuvunaana basajja baayo

Olive Nabiryo
0 Min Read

Poliisi evumiridde eky’abasirikale baayo abaalabikira mu butambi obutambula ku mikutu emigatta bantu nga bayuza ebipande bya Robert Kyagulanyi eyamaze okukakasibwa mu butongole nti akkirizibwa okuvuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga n’ekakasa nti kino abaakikoze, kyabadde kikolwa kyabwe nga ssekinnoomu naye si nga ekitongole kya poliisi.

Bo aba NUP bagamba, kuno kugezaako kubasosonkereza bave mu mbeera kye batajja kukola.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *