Poliiisi etubuulidde nti mu nnaku bbiri akakiiko k’eby’okulonda zekamaze nga kasunsula abeegwanyiza obwa Pulezidenti ekutte bantu 79 ababadde bagezaako okwerimbika mu bawagizi b’abesimbyewo okumenya amateeka. Abasinga baakwatibwa ku lunaku olwasooka , kyoka nga mpaawo muntu yafiiridde mu bikujjuko ebyagoberedde okunsula kuno. Mungeri y’emu ekibiina ki National Unity Platform kifulumizza gyekitandikira okukuba kakuyege wakyo.