Bobi Wine: Abazze bafiira mu ‘struggle’ be bankomezzaawo

Olive Nabiryo
1 Min Read

Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu ka 2026 Robert Kyagulanyi Ssentamu atugambye nti emyoyo gy’abo abafiiridde mu lutalo olw’okugezaako okuleeta enkyukakyuka saako n’abo abali mu makomera byebimuwa ku bimuwaliririzza okuddamu okuvuganya ku kifo kino.

Kyagulanyi agambye nti ku bbalaza waakwanjula manifesto ye ey’okuleeta Uganda empya era bwewatabaawo kikyuka n’okusaggula obuwagizi waakubutandikira mu kitundu ekya Busoga.

Bino abyogeredde mu mboozi ey’akafubo n’omusasi waffe Aniwalu Katamba.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *