Bannamateeka baagala etteeka eriwa omukulembeze we ggwanga okulonda abalamuzi ba kkooti ez’enjawulo lirongosebwemu, obuyinza budde mu mikono gya bantu ba bulijjo. Bano bagamba ebiseera ebisinga ensalawo y’abalamuzi ezze ebeeramu kyekubiira, naddala singa omusango gubaamu gavumenti. Bino babyogeredde mu bimu ku bikujjuko nga ssemateeka wa Uganda bwanaatera okuweza emyaka 30 nga atongozeddwa mu mwaka 1995.