Munna FDC Nandala Mafaabi y’omu ku bantu abasunsuddwa olwaleero okwegwanyiza obwa pulezidenti mu kulonda okunabawo omwaka 2026.Mafaabi ono atubuulidde nti singa akwasibwa obukulembeze bwe ggwanga , amaanyi gonna wakugamalira nnyo ku kyakuzza ngulu bya nfuna bya ggwanga, byalaba nga byagwa dda olubege.Oluvanyuma ono akubye olukungana gaggadde e Butabika , naayogerako eri enkumuliitu y’abawagizibe ababade bamulinze.