Abaddukanya ekisinde ki Patriotic league of Uganda bagamba nti boongedde okusembera ku mwanjo mu bukulembeze bw’ekibiina ki NRM, oluvannyuma lw’abantu baabwe okuwangula ebifo ebiwera ku lukiiko lwa NRM olw’okuntikko olwa CEC mpozzi ne mu bumyufu bwa NRM. Okusinziira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina kino David Kabanda, kati obwanga baakubwolekeza ku kunoonyeza ssentebe wa NRM obuwagizi asobole okuwangula akalulu ka 2026 ku ky’omukulembeze w’eggwanga.Abakulu bano boogeddeko n’abamawulire.