Kkooti enkulu mu Kampala eyongezzaayo okuwulira omusango gwa Dr. Kiiza Besigye ne munne Obeid Lutale oluvannyuma lw’abavunaanwa okusigala nga bajeemye okulinnya mu kkooti. Omulamuzi Emmanuel Baguma y’asazeewo bw’ati era oludda oluwawaabirwa olukulemberwa Martha Karua lumujjukiza nti ye ye nsonga enkulu lwaki abavunaanwa tebakyalinnya mu kkooti, nga bamuwandiikira dda nebamusaba abaviire mu musango gwabwe kyokka nagugaaniramu.Kyokka era abavunaanwa ku luno bategeezeezza nti babadde n’esnonga zaabwe endala nga Dr. Besigye agamba tabadde mũ mbeera nnungi so nga ye Lutale ategezeezza nti tasobodde-busobozi.Bannamateeka ba Besigye nabo bategezeezza omulamuzi nti babaddeko n’ensonga z’okwanja naye bayinza kukikola nga abantu bebawolereza webaali. Ye Captain Denis Oola bwe bavunaanwa ne Besigye abaddewo mu kkooti era aziddwayo e Luzira.Kati katufune biki bannamateeka ba Besigye ne Lutale bye boogedde ku nsonga zino.