Omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi, asabye abakulu abaddukanya palamenti okubeera abagumiikiriza n’okugumira ebigambo bye bataagala kuwulira ebiwandiikibwa bannamawulire.Okwogera bino, kiddiridde abakulira palamenti okukugira bannamawulire b’omukutu gu NMG ogutwala ne NTV eno gy’olaba okuyingira okusaba ebibadde mu lutuula lwaleero.Bano tewali nsonga gye batuwadde okuggyako okulippa abasasi betusindiseeyo jjeeke n’okubaggyako kaadi ezibakkiriza okuyingira palamenti nebabalagira okudda gye bavudde.Amyuka sipiika Thomas Tayebwa nga y’akubirizza palamenti olwaleero, asuubizza okulondoola ensonga zino alabe kwe kyavudde.
Palamenti egobye bannamawulire ba NTV ne Monitor, tewadde nsonga
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
