SSENTE Z’OKUSUNSULWA: NUP yakusasulira abamu ku beegwanyiza obubaka ku kaadi yaayo

Gladys Namyalo
0 Min Read

Ekibina ki NUP kigamba nti kyakukwatizaaako abamu ku bakulembeze ku mutendera gw’ababaka ba palamenti okusasula omutemwa gw’obukadde obusatu ezisabibwa akakiiko k’ebyokulonda okusunsulwa. Newankubadde ekibiina kigamba kyandisasudde ensimbi za buli mukulembeze, eky’okukandaaliririzibwa okwegatta ku mukago ogutaba ebibiina by’obufuzi gu IPOD kibazizza emabega.Jjukira nti mu IPOD eno, NUP yali esuubirwa okufuna omutemwa gw’ensimbi eziweebwa ebibiina ebikiikayo nga zino zigabibwa okusinziira ku bungi bw’ababaka ba palamenti ekibiina bekirina.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *