Ababaka baagala kumanya lwaki okulayiza Nalukoola kuluddewo
Ababaka batadde sipiika wa palamenti ku ninga nga baagala abanyonyole lwaki nakakati tewanabawo ntekateeka za kulayiza mubaka wa Kawempe North omulonde Elias Nalukoola.
Omubaka ssemujju Nganda owa Kira Munisipaali ajjulizza ku babaka nga Micheal Mawanda eyawangula nalayizibwa nga tewanayita na saawa anna mu munaana , kyoka ku Nalukoola ennaku zigenda kuwera kumpi musanvu nga tewali kanyego.Mu kubaanukula sipiika agambye tanafuna kubagulizibwako nti Nalukoola yateekeddwa mu lupapula lwa gavumenti olumanyiddwa nga gazzete, n’oluvanyuma alyoke alayizibwe.