Alipoota y’e Kiteezi: Bba kkansala ba KCCA baakwekolera eyaabwe
Sipiika w’olukiiko lwa KCCA Zahara Luyirika ayambalidde omuloodi Erias Lukwago, nga amulanga okukula era akomye obuzannyo bwa kkappa egoba emmese wabula mu nsonga y'okubanjulira alipoota ku njega y'e Kiteezi.Kino kiddiridde Loodi Meeya n'olukkiko lwa CEC obutalabikako mu lukiiko lwa bakkansala olwaleero ekibaleetedde okutondawo akakiiko ka bakansala 10 abagenda okunoonyereza ku kiki ddala ekyatuuka e Kiteezi beekolere alipoota eyaabwe.