Eyatomerwa abajaasi alaajanye, be yeewolako okwejjanjaba bamuli bubi
Jalia Nakizito mukadde wa myaka 60, naye ebizibu byeyagwamu ku myaka gye oluvannyuma lw'okutomerwa motoka y'amagye mu mwezi Gwomusanvu omwaka oguwedde tebirojjerwa.Nakizito Motoka y'amagye yabatomerera mu bitundu by'e Mpigi bwe yali ne banne abalala munaana nga bava kuziika mu bitundu by'e Seeta-Mukono.Ekisinga okunyiga omukdde ono, nti amagye tegalina kye gaali gamukoledde yadde ku by'obujajjabi so nga yatuuka n'okwewola akasent akamujajjaba, ne kati k'alemereddwa okusasula, nga abaamuwola baamuwadde okutuuka nga 25 omwezi guno, batunde enju ye bbo baggyeko ezaabwe.