Gavumenti yaakutandika okukola oluguudo lw’e Bundibugyo
Gavumenti ekakasizza nga bwegenda okutandika okukola ku luguudo oluva e Fort Portal okudda e Bundibugyo olwabombokako ekitundu olw'okuyigulukuka kw'ettaka olwaliwo omwaka oguwedde ku kyalo Ddumba.
Okusinziira ku Minisita omubeezi ow’ebyenguudo Musa eEcweru omulimu gw'okukola ku luguudo luno gwakutandika olunaku lw'enkya Oluguudo luno twalukulaze mu mawulire gaffe eggulo ngabakulembeze ba disitulikiti ye Bundibugyo bayimirizza mmotoka ennene okuluyitako.