Kkooti eragidde Omukama Solomon Gafabusa atwalibwe ebweru ajjanjabwe
Kkooti enkulu e Hoima eyisizza ekiragiro ekikaka abavunaanyizibwa ku Mukama wa Bunyoro Dr. Solomon Gafabusa Iguru okumutwala wabweru wa Uganda afune eddwaliro eriyinza okumujjanjjaba obulungi.Kiddiridde omusango ogwawawaabirwa omu ku babiito oba abalangira b'obukama Apollo Kisoro nga yeemulugunya ku mbeera muganda waabwe gy'alimu kyokka nga’abakulu mu Bukama besuuliddeyo gwa nnagamba.Omulamuzi Jesse Rugyema Byaruhanga akkaanyiza ne Kisoro nti ddala omukama wano tewakyali ddwaliro lisobola kutaasa bulamu bwe.