LILLIAN NAKIRYA: Wuuno ggoolo kippa atanateebwamu mu gy’abakyala
Lilian Nakirya omukwasi wa goolo mu tiimu ya St Noa Girls esambira mu liigi y'eggwanga ey'ekibinja eky'okubiri, yemuzannyi yeka atanatebwamu goolo mu liigi omwaka guno mu mipiira omwenda tiimu ye gyeyakasamba. Kati ono agamba nti embera yemu gyayagala okusaawo nga tiimu ye eyesomero etunka mu mpaka z'ewakiso ez'okusunsulamu amasomero aganavuganya ku mutendera gw'egwanga.