MWERINDE ENKUBA EMBI :Ab’enteebereza y’obudde balabudde , yakumala enaku 10
Ekitongole ky'entebereza y'obudde kirabudde eggwanga ku nkuba embi egenda okutonya wakati wa nga lumu okutuuka nga 10 omwezi guno.Ekitongole kigamba nti wakati mu namuttikwa w’enkuba eno, omusujja gwensi gwandyeyongera, okuyigulukuka kwe ttaka, amataba era nga ebitundu ebiri mu mambuka, obugwanjuba n’ebirala ebiriranyewo byebyolekedde okukosebwa.Wabula Minisita omubeezi ow’ebigwa tebiraze, Lillian Aber, agambye,newankubadde gavumenti eri bulindaala ku bigwa tebiraze, naye ate okubyanganga obulungi, birina kusooka kugwaawo.