Okulabirira abalwanyi Abakaramoja: Gavumenti etandise okubawa ssente
Gavumenti etandise okukwasiza ku ba Karacuna nga bano balwanyi mu bitundu bye Karamoja abaali beeyambisa emmundu okwenyigira mu bunyazi bw’ente ng’eyita mu kubawa ensimbi basobole okwekulakulanya bavve mu muze guno. Minisita w’eby’ensimbi Matiya Kasaijja akwasizza ebibiina byabakacuna ebiwerera ddala mwenda ensimbi obukadde 50 buli kibiina bazeewole basobole okuzikozesa emirimu egibakulakulanya.