Okusaba Kw’amazuukira: Kaziimba akunze abalonzi okwettanira enteekateeza z’okulonda
Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stephen Kazimba akunze banna Uganda okujjumbira entekateeka z’okulonda nga batandika nakukebera enkalala z’abalonzi.Kino wekijjide ng’akakiiko k’eby’okulonda kateekateeka okutimba enkalala z’abalonzi okutandika ku lw’okutaano lwa sabiiti gyetutandika. Ssaabalabirizi okwogera bino abade akulembedde okusaba kw’amazukira ku lutikko ya All Saints e Nakasero.