OKUTTIBWA KWA DANIEL BBOSA :Abavunaanibwa bazziddwayo ku alimanda e Luzira
Abantu abataano abagambibwa nti baliko kyebamanyi ku kutta kw’eyali omukulu w’ekika ky’endiga Eng. Daniel Bbosa baziddwayo mu kkomera e Luzira okutuusa nga 30th-May omwaka guno.Kino kiddiridde Poliisi okutegeeza nga okunoonyereza bwekukyagenda mu maaso era bwekunaggwa abavunaanibwa basindikibwe mu kkooti enkulu gyebagenda okwewolezaako.