‘Tetukyasolooza EFRIS”: URA egamba ekyasomesa basuubuzi
Ekitongole ekiwooza ki URA kigamba nti kimaze emyezi kumi nga tekisolooza musolo munkola eya Electronic Fiscal Receipting and Invoicing solution, EFRIS nga kati kaweEfube gwebaliko wa kusomessa abantu engeri gye basobola okusasulamu n’okukozesa ebyuma bikalimagezi ku musolo guno. Akulira URA John Musinguzi, agamba nti abantu batandise okujjumbira enkola eno era nga bangi batandise okugyewandiisako.Bano babadde balabiseko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebyensimbi ku ngeri gye baagala embalirira yaabwe efanaane mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/2026. Eno ya obuwumbi 764.